Matthew 26:63 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yezu n'asirika busirisi. Kabona omukulu n'amugamba nti: “Nkulayiza Katonda omulamu, tutegeeze obanga ggwe Kristu Omwana wa Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’asirika busirisi. Ate Kabona Asinga Obukulu, n’amuddira ng’amugamba nti, “Nkulagira, mu linnya lya Katonda omulamu otutegeeze obanga Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu n'asirika. Kabona asinga obukulu n'amugamba nti, “Nkulayiza Katonda omulamu, tubuulire oba nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yesu n'asirika. Ssaabakabona n'amugamba nti: “Nkulayiza Katonda Nnannyibulamu, tutegeeze oba nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu n'asirika. Kabona asinga obukulu n'amugamba nti Nkulayiza Katonda omulamu, tubuulire oba nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.