Matthew 26:64 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amugamba nti: “Oyogedde; era nkugamba nti n'okuva kati Omwana w'Omuntu mulimulaba ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'Obuyinza era ng'ajjira mu bire eby'omu ggulu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’addamu nti, “Okyogedde. Naye mbagamba nti, okuva ne kaakano mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’akomawo ku bire eby’eggulu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amugamba nti, “Oyogedde, naye mbagamba nti Okusooka leero muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, era ng'ajjira ku bire eby'eggulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'addamu nti: “Nga bw'oyogedde. Naye mbagamba nti okuva kati muli ba kulaba Omwana w'Omuntu ng'atudde ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza, era ng'ajjira ku bire eby'eggulu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'amugamba nti Oyogedde: naye mbagamba nti Okusooka leero muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, ng'ajjira ku bire eby'eggulu.