Matthew 26:65 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabona omukulu n'ayuza ebyambalo bye, n'agamba nti: “Avumye Katonda. Tukyetaagira ki abajulizi, anti mwewuliridde ekivumo kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona Asinga Obukulu, n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Kuno kuvvoola! Ate kati tukyetaagira ki abajulirwa abalala? Mwenna mumuwulidde ng’akyogera!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona asinga obukulu n'ayuza ebyambalo bye, n'agamba nti, “Avvodde Katonda, twagalira ki nate abajulirwa? Laba, muwulidde kaakano obuvvoozi bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ssaabakabona n'ayuza ebyambalo bye, era n'agamba nti: “Avvodde Katonda! Ate tukyetaagira ki abajulirwa? Kaakati muwulidde ebigambo ebibi by'ayogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona asinga obukulu n'ayuza ebyambalo bye, n'agamba nti Avvodde Katonda: twagalira ki nate abajulirwa? laba, muwulidde kaakano obuvvoozi bwe: