Matthew 26:69 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Petero ye yali atudde bweru mu luggya. Omuzaana omu n'asembera w'ali n'agamba nti: “Naawe wali ne Yezu Omugalilaaya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo Peetero yali atudde mu luggya. Awo omuweereza omuwala n’ajja awali Peetero n’amugamba nti, “Wali wamu ne Yesu, ow’e Ggaliraaya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Peetero yali atudde bweru mu kigango, omuwala n'ajja gy'ali, n'amugamba nti, “Naawe wali wamu ne Yesu Omugaliraaya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Peetero bwe yali ng'atudde ebweru mu luggya, omuwala omu omuweereza n'ajja w'ali, n'agamba nti: “Naawe wali ne Yesu Omugalilaaya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Peetero yali atudde bweru mu kigango: omuwala n'ajja gy'ali, n'agamba nti Naawe wali wamu ne Yesu Omugaliraaya.