Matthew 26:71 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aba afuluma ati ku kifugi, omuzaana omulala n'amulaba, n'agamba abaali awo nti: “N'ono yali ne Yezu ow'e Nazareti.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyumako nga Peetero ayimiridde okumpi n’oluggi olunene oluva mu luggya, omuwala omulala n’amulaba, n’agamba abo abaali bayimiridde awo nti, “Omusajja ono yali ne Yesu ow’e Nazaaleesi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe yafuluma okutuuka mu kisasi, omuwala omulala n'amulaba n'agamba abantu abaali awo nti, “N'ono yali wamu ne Yesu Omunazaaleesi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate bwe yali ng'ayita mu lukuubo olufuluma ebweru, omuwala omulala omuweereza n'amulaba, n'agamba abantu abaali awo nti: “N'ono yali wamu ne Yesu Omunazaareeti.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe yafuluma okutuuka mu kisasi, omuwala omulala n'amulaba n'agamba abantu abaali awo nti N'ono yali wamu ne Yesu Omunazaaleesi.