Matthew 26:73 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga wayiseewo akabanga, abaali bayimiridde awo ne basembera, ne bagamba Petero nti: “Kya mazima naawe oli omu ku bo, kubanga n'enjogera yo ekuloopa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nga wayiseewo akabanga, abasajja abaali bayimiridde awo ne bajja w’ali, ne bamugamba nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga otegeerekeka olw’enjogera yo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne wayitawo ebbanga ttono, abaali bayimiridde awo ne bajja ne bagamba Peetero nti, “Mazima naawe oli munnaabwe; kubanga enjogera yo ekuloopa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga wayiseewo akaseera katono, abaali bayimiridde awo ne bajja, ne bagamba Peetero nti: “Ddala naawe oli omu ku bagoberezi ba Yesu, kubanga n'enjogera yo ekuloopa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne wayitawo ebba nga ttono, abaali bayimiridde awo ne bajja ne bagamba Peetero nti Mazima naawe oli munnaabwe; kubanga enjogera yo ekutegeezezza.