Matthew 26:74 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'asooka okuvumirira n'okulayira nga bw'agamba nti: “Omuntu oyo simumanyi.” Amangu ago enkoko n'ekookolima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Peetero n’atandika okulayira nate, ne yeeyongera okwegaana ng’agamba nti, “Omuntu simumanyi.” Amangwago enkoko n’ekookolima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Peetero n'atandika okukolima n'okulayira nti, “Omuntu oyo simumanyi.” Amangwago enkoko n'ekookolima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Peetero n'agamba nti: “Oba bye njogera si bya mazima, kale nkolimirwe.” Era n'alayira nti: “Katonda alaba nti nze simanyi musajja oyo.” Amangwago enkoko n'ekookolima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'atanula okukolima n'okulayira nti Omuntu oyo simumanyi. Amangu ago enkoko n'ekookolima.