Matthew 27:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obudde bwe bwakya, bakabona abakulu bonna n'abakadde b'abantu ne bateesa batte Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo obudde bwe bwakya, bakabona abakulu bonna n’abakulembeze b’Abayudaaya ne beeyongera okukuŋŋaana ne bateeseza wamu balabe ekkubo lye banaayitamu okutta Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo obudde bwe bwakya, bakabona abakulu bonna n'abakadde b'abantu ne bateeseeza wamu ku by'okutta Yesu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obudde bwe bwakya, bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bateesa ku kutta Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye obudde bwe bwakya bakabona abakulu bonna n'a bakadde b'abantu ne bateesa wamu ebya Yesu okumutta: