Matthew 27:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'ayimirira mu maaso g'owessaza. Owessaza n'amubuuza nti: “Ggwe kabaka w'Abayudaaya?” Yezu n'amuddamu nti: “Oyogedde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yayimirira mu maaso ga gavana, Omuruumi, gavana n’amubuuza nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Okyogedde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'ayimirira mu maaso g'owessaza; owessaza n'amubuuza ng'agamba nti, “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti, “Oyogedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'ayimirira mu maaso g'omufuzi Omurooma. Omufuzi oyo n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti: “Nga bw'oyogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'ayimirira mu maaso g'ow'essaza: ow'essaza n'amubuuza ng'agamba nti Ggwe Kabaka w'Abayudaaya? Yesu n'amugamba nti Oyogedde.