Matthew 27:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'atamwanukula ku byonna ebyali bimuvunaanibwa; owessaza kwe kwewuunya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’ataddamu kigambo na kimu, era gavana ne kimwewuunyisa nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu teyamuddamu na kigambo na kimu; owessaza n'okwewuunya ne yeewuunya nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yesu n'atamuddamu kigambo na kimu. Omufuzi ne yewuunya nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye teyamuddamu na kigambo na kimu: ow'essaza n'okwewuunya ne yeewuunya nnyo.