Matthew 27:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku mbaga enkulu owessaza yateeranga ekibiina omusibe gwe kyayagalanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gavana yalina empisa ey’okusumulula omusibe omu mu kiseera eky’Embaga y’Okuyitako, ng’omusibe oyo abantu be baamweronderanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ku mbaga ejjukirirwako Okuyitako, ow'essaza yalina empisa okusumululiranga ekibiina omusibe omu, gwe baayagalanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku buli Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, omufuzi Omurooma yali amanyidde okuta omusibe, ekibiina ky'abantu gwe kyamusabanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ku mbaga ow'essaza yalina empisa okusumululiranga ekibiina omusibe omu, gwe baayagalanga.