Matthew 27:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bwe baamala okukuŋŋaana, Pilato n'ababuuza nti: “Mwagala mbateere ani, Barabba nandiki Yezu ayitibwa Kristu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Piraato n’abuuza ekibiina ekyali kikuŋŋaanye nti, “Mwagala mbasumululire ani, Balaba oba Yesu, ayitibwa Kristo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baakuŋŋaana, Piraato n'abagamba nti, “Aluwa gwe mwagala mbasumululire? Balaba, oba Yesu ayitibwa Kristo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu bwe baakuŋŋaana, Pilaato n'ababuuza nti: “Mwagala mbateere aluwa: Barabba, oba Yesu ayitibwa Kristo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baakuŋŋaana, Piraato n'abagamba nti Aluwa gwe mwagala mmubasumululire? Balaba, oba Yesu ayitibwa Kristo?