Matthew 27:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali atudde ku ntebe ey'obulamuzi, mukazi we n'amutumira ng'agamba nti: “Omutuukirivu oyo tobaako ky'omukolako, kubanga olwa leero nabonyeebonye bingi mu kirooto olw'okubeera ye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Piraato yali akyali wakati mu musango ogwo, mukazi we n’amutumira n’obubaka buno nti, “Toba na nsonga na musajja oyo omutuukirivu kubanga natawaanyizibbwa n’ekirooto eky’omuntu oyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe yatuula ku ntebe esaalirwako emisango, mukazi we n'amutumira, ng'agamba nti, “Omuntu oyo omutuukirivu tomukolako kabi n'akatono, kubanga olwaleero nnalumiddwa bingi mu kirooto ku lulwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Pilaato bwe yali atudde ku ntebe ey'obulamuzi, mukazi we n'amutumira ng'agamba nti: “Omuntu oyo atalina musango tomukolako kabi n'akatono, muleke, kubanga olwaleero, nalumiddwa nnyo mu kirooto ku lulwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe yatuula ku ntebe ey'emisango, mukazi we n'amutumira, ng'agamba nti Omuntu oyo omutuukirivu tomukola kintu n'akatono: kubanga nnalumiddwa leero bingi mu kirooto ku lulwe.