Matthew 27:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Owessaza n'addamu okubagamba nti: “Ku babiri mwagala mbateere ani?” Ne bamuddamu nti: “Barabba,”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gavana bwe yaddamu okubabuuza nti, “Ku bano bombi mbateereko aluwa?” Ekibiina kyonna ne kiddamu nti, “Balaba!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye owessaza n'addamu n'ababuuza nti, “Ku abo bombi aluwa gwe mwagala mbasumululire?” Ne baddamu nti, “Balaba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omufuzi n'ababuuza nti: “Ku bano bombi mwagala mbateere aluwa?” Ne baddamu nti: “Barabba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ow'essaza n'addamu n'abagamba nti Ku abo bombi aluwa gwe mwagala mmubasumululire? Ne bagamba nti Balaba.