Matthew 27:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pilato n'abagamba nti: “Yezu ayitibwa Kristu mmukole ntya?” Bonna ne bagamba nti: “Akomererwe ku musaalaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Piraato n’ababuuza nti, “Kale Yesu, ayitibwa Kristo, mukole ntya?” buli omu n’addamu nti, “Akomererwe!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Piraato n'abagamba nti, “Kale nnaakola ntya Yesu ayitibwa Kristo?” Bonna ne baddamu nti, “Akomererwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pilaato n'ababuuza nti: “Kale Yesu ayitibwa Kristo nnaamukola ntya?” Bonna ne baddamu nti: “Akomererwe ku musaalaba!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Piraato n'abagamba nti Kale nnaakola ntya Yesu ayitibwa Kristo? Bonna ne bagamba nti Akomererwe.