Matthew 27:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Ddala yakola kibi ki?” Bo ne beeyongera okukaalaama nga bagamba nti: “Akomererwe ku musaalaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Piraato n’ababuuza nti, “Lwaki, kiki ky’asobezza?” Naye bo ne beeyongera kuleekaanira waggulu nti, “Akomererwe!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Piraato n'ababuuza nti, “Lwaki? Ekibi ky'akoze kiruwa?” Naye ne bakaayana nnyo, ne bagamba nti, “Akomererwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pilaato n'ababuuza nti: “Lwaki, kibi ki ky'akoze?” Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Akomererwe ku musaalaba!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'agamba nti Lwaki? ekibi ky'akoze kiruwa? Naye ne bakaayana nnyo, ne bagamba nti Akonererwe.