Matthew 27:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pilato yalaba talina ky'atuukako, wabula ng'akeegugungo ke katandiikiriza, n'akwata amazzi, n'anaaba mu ngalo mu maaso g'ekibiina, n'agamba nti: “Nze sirina kye nvunaanibwa ku musaayi gw'omuntu ono; mmwe munaalaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Piraato bwe yalaba ng’ensoga talina gy’aziraza, ate ng’ebibiina byagala kusasamala, n’atumya amazzi, n’anaaba engalo ze mu maaso g’ekibiina nga bw’agamba nti, “Nze siriiko musango gwonna olw’omusaayi gw’omuntu ono omulungi. Obuvunaanyizibwa bwonna buli ku mmwe!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Piraato bwe yalaba nga taasobole n'akatono, era nga bayinze okukaayana, n'addira amazzi, n'anaaba mu ngalo mu maaso g'ekibiina ng'agamba nti, “Nze siriiko kabi olw'omusaayi gw'omuntu ono omutuukirivu; musango gwammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pilaato bwe yalaba nga byonna bya bwereere, era nga beeyongera bweyongezi okusasamala, n'addira amazzi, n'anaaba mu ngalo, mu maaso g'abantu bonna nga bw'agamba nti: “Nze sirina kye nvunaanibwa ku kuttibwa kwa muntu ono. Byonna biri ku mmwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Piraato bwe yalaba nga taasobole n'akatono, era nga bayinze okukaayana, n'addira amazzi,n'anaaba mu ngalo mu maaso g'ekibiina ng'agamba nti Nze siriiko kabi olw'omusaayi gw'omuntu ono omutuukirivu: musango gwammwe.