Matthew 27:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'abateera Barabba; Yezu bwe yamala okumukuba enkoba n'amuwaayo akomererwe ku musaalaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Piraato n’asumulula Balaba n’abamuwa. Naye bwe yamala okukuba Yesu embooko n’amuwaayo bamukomerere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Piraato n'abasumululira Balaba, naye Yesu n'amukuba enkoba n'alyoka amuwaayo okukomererwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Pilaato n'abateera Barabba. Ate Yesu bwe yamala okukubibwa n'embooko eriko amalobo agasuna, Pilaato n'amuwaayo okukomererwa ku musaalaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'abasumululira Balaba: naye Yesu n'amukuba enkoba n'alyoka amuwaayo okukomererwa.