Matthew 27:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bazinga omuge ogw'amaggwa, ne bagumussa ku mutwe, ne bamukwasa olumuli mu mukono ogwa ddyo, ne bamufukaamirira nga bamuduulira, nga bagamba nti: “Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bakola engule mu maggwa ne bagimutikkira, ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo. Ne bamufukaamirira nga bamuduulira nti, “Mirembe, Kabaka w’Abayudaaya!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baluka engule ey'amaggwa, ne bagissa ku mutwe gwe, ne bamukwasa n'olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo; ne bafukamira mu maaso ge, ne bamuduulira, nga bagamba nti, “Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bawetaaweta amaggwa, ne bakolamu engule, ne bagimuteeka ku mutwe. Ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo, ne bafukamira mu maaso ge, ne bamukudaalira nga bagamba nti: “Wangaala, Kabaka w'Abayudaaya!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baluka engule ey'amaggwa, ne bagissa ku mutwe gwe, n'olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo; ne bafukamira mu maaso ge, ne bamuduulira, nga bagamba nti Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!