Matthew 27:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda eyamuwaayo, bwe yalaba nga Yezu asaliddwa ogw'okufa, ne yejjusa; ebitundu bya ffeeza amakumi asatu n'abikomyawo ewa bakabona abakulu n'abakadde
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yuda, eyali amuliddemu olukwe, bwe yalaba nga Yesu bamusalidde omusango gwa kufa, n’azzaayo ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza eri bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yuda, eyalya mu Yesu olukwe, bwe yalaba nga Yesu omusango gumusinze, ne yejjusa, n'addiza bakabona abakulu n'abakadde ebitundu ebyo asatu (30) ebya ffeeza,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yuda eyalyamu Yesu olukwe, bwe yalaba nga Yesu asaliddwa ogw'okufa, ne yejjusa. Era ebitundu bya ffeeza n'abiddiza bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yuda, eyamulyamu olukwe, bwe yalaba ng'omusango gumusinze, ne yejjusa, n'addiza bakabona abakulu n'abakadde ebitundu ebyo amakumi asatu ebya ffeeza