Matthew 27:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali bafuluma, ne basanga omusajja ow'e Kureni, erinnya lye Simoni; ono ne bamuwaliriza okwetikka omusaalaba gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali nga bagenda gye banaamukomerera, ne basisinkana omusajja omukuleene, erinnya lye nga ye Simooni, ne bamulagira lwa maanyi yeetikke omusaalaba gwa Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baali bafuluma, ne basisinkana omusajja Omukuleene, erinnya lye Simooni; ne bamuwaliriza oyo yeetikke omusalaba gwa Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali bafuluma, ne basisinkana omusajja Omukireene, ayitibwa Simooni, ne bamuwaliriza okwetikka omusaalaba gwa Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe baali bafuluma, ne basisinkana omu Omukuleene, erinnya lye Simooni: ne bamuwaliriza oyo yeetikke omusalaba gwe.