Matthew 27:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abanyazi babiri baakomererwa wamu naye, omu ku ddyo n'omulala ku kkono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo n’abanyazi babiri abaakomererwa naye omu ku ddyo, n’omulala ku kkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abanyazi babiri (2) ne bakomererwa naye, omu ku mukono ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne bakomerera abanyazi babiri ku misaalaba okumpi ne Yesu: omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, omulala ku lwa kkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abanyazi babiri ne bakomererwa naye, omu ku mukono ogwa ddyo, omulala ku gwa kkono.