Matthew 27:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'agamba nti: “Nnyonoonye okuwaayo omusaayi gw'ataliiko musango.” Bo ne bamugamba nti: “Ekyo ffe kitukwatako? Ggwe onoolaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ng’agamba nti, “Nnyonoonye, kubanga ndiddemu olukwe omusaayi ogutalina musango.” Naye ne bamuddamu nti, “kyo kitukwatako kitya? Ezo nsoga zo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga bw'agamba nti, “Nnayonoona okulyamu olukwe omusaayi ogutalina kabi.” Naye bo ne bamugamba nti, “Guno guli ku ffe? Musango gwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga bw'agamba nti: “Nayonoona okuwaayo omuntu okuttibwa sso nga talina musango!” Naye bo ne bamuddamu nti: “Ekyo tukifaako ki? Ezo nsonga zo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'agamba nti Nnayonoona okulyamu olukwe omusaayi ogutalina kabi. Naye bo ne bamugamba nti Guno guli ku ffe? musango gwo.