Matthew 27:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga bagamba nti: “Ggwe amenya Ekiggwa kya Katonda n'okizimba mu nnaku ssatu? Weewonye! Obanga ggwe Mwana wa Katonda, kka ove ku musaalaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bwe bagamba nti, “Wagamba okumenya Yeekaalu, ate ogizimbe mu nnaku ssatu! Weerokole okke wansi okuva ku musaalaba, obanga ggwe Mwana wa Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga bagamba nti, “Ggwe amenya Yeekaalu, n'ogizimbira ennaku essatu (3), weerokole! oba nga oli Mwana wa Katonda, va ku musalaba okke.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne banyeenya emitwe, era ne bagamba nti: “Ggwe amenya Essinzizo, ate n'olizimba mu nnaku essatu, weewonye. Oba nga oli Mwana wa Katonda, va ku musaalaba okke!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bagamba nti Ggwe amenya yeekaalu, agizimbira ennaku essatu, weerokole: oba nga oli Mwana wa Katonda, va ku musalaba okke.