Matthew 27:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yawonyanga balala, ye tayinza kwewonya. Anti ye kabaka wa Yisirayeli, kaakano nno akke ave ku musaalaba, tujja kumukkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yalokolanga balala, naye ye tasobola kwerokola! Kale nga bw’ali Kabaka wa Isirayiri, ave ku musaalaba akke wansi, naffe tunaamukkiriza!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Yalokolanga balala; tayinza kwerokola yekka. Ye Kabaka wa Isiraeri; ave kaakano ku musalaba, naffe tunaamukkiriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Yawonyanga balala, tayinza kwewonya ye yennyini. Ye Kabaka wa Yisirayeli, kaakano ave ku musaalaba akke, tulyoke tumukkirize.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yalokola balala; tayinza kwerokola yekka. Ye Kabaka wa Isiraeri; ave kaakano ku musalaba, naffe tunaamukkiriza.