Matthew 27:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti yeesiga Katonda, kaakano Katonda amuwonye obanga amwetaaga, anti yagamba nti: ‘Ndi Mwana wa Katonda.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeesiga Katonda, kale amuggye ku musaalaba obanga Katonda amwagala. Yagamba nti, ‘Ndi Mwana wa Katonda.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Yeesiga Katonda; amulokole kaakano, oba amwagala, kubanga yagamba nti, ‘Ndi Mwana wa Katonda.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yeesiga Katonda, era yagamba nti Mwana wa Katonda. Kale Katonda amuwonye kaakano oba ng'amwagala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yeesiga Katonda; amulokole kaakano, oba amwagala: kubanga yagamba nti Ndi Mwana wa Katonda.