Matthew 27:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva ku ssaawa eyoomukaga ekizikiza ne kibikka ensi yonna okutuusa ku ssaawa eyoomwenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuviira ddala ku ssaawa mukaaga mu ttuntu okutuusiza ddala essaawa mwenda ez’olweggulo ensi yonna yabikkibwa ekizikiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo okuva ku ssaawa ey'omukaaga kyali kizikiza ku nsi yonna okutuuka ku ssaawa ey'omwenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva ku ssaawa mukaaga ez'emisana, okutuusa ku ssaawa mwenda ez'olweggulo, ekizikiza ne kibikka ensi yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye okuva ku ssaawa ey'omukaaga kyali kizikiza ku nsi yonna okutuuka ku ssaawa ey'omwenda.