Matthew 27:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga ku ssaawa eyoomwenda Yezu n'aleekaana n'eddoboozi ddene nti: “Eli, Eli, lama sabakitani?” kwe kugamba nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku ssaawa nga mwenda Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Eri, Eri lama sabakusaani,” ekitegeeza nti, “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obudde bwe bwatuuka ng'essaawa ey'omwenda Yesu n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, ng'agamba nti, “Eri, Eri, lama sabakusaani?” Amakulu gaakyo nti, “Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo nga ku ssaawa ey'omwenda, Yesu n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Eli, Eli, lama sabakutaani?” Ekitegeeza nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obudde bwe bwatuuka ng'essaawa ey'omwenda Yesu n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, ng'agamba nti Eri, Eri, lama sabakusaani? amakulu gaakyo nti Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?