Matthew 27:48 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omu ku bo n'ayanguwa mangu n'addira ekyangwe n'akinnyika mu nkaatu, n'akitunga ku lumuli, n'amuwa anywe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago omu n’adduka n’addira ekyangwe n’akinnyika mu mwenge omukaatuufu n’akiteeka ku muti, n’akimuwa anuuneko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago munnaabwe omu n'adduka, n'atoola ekisuumwa, n'akijjuza omwenge omukaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'amunywesa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago omu ku bo n'adduka, n'akwata ekyangwe, n'akinnyinka mu mwenge ogw'emizabbibu omukaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'awa Yesu okunywa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago munnaabwe omu n'addukana, n'atoola ekisuumwa, n'akijjuza omwenge omukaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'amunywesa.