Matthew 27:51 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo olutimbe lw'omu Kiggwa ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n'ekankana, enjazi ne ziryeryebuka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era laba! Eggigi ly’omu Yeekaalu ne liyulikamu wakati okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n’ekankana, n’enjazi ne zaatika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, olutimbe olwali mu Yeekaalu ne luyulikamu wabiri okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n'ekankana; enjazi ne zaatika;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olutimbe olw'omu Ssinzizo ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi. Ensi n'ekankana, enjazi ne zaatika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, eggigi lya yeekaalu ne liyulikamu wabiri okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n'ekankana; enjazi ne zaatika: