Matthew 27:53 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamala okuzuukira, baava mu ntaana ne bagenda mu kibuga ekitukuvu, ne balabikira bangi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era Yesu bwe yamala okuzuukira ne bava mu ntaana gye baali baziikiddwa ne bayingira mu kibuga ekitukuvu ne balabibwa abantu bangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bava mu ntaana. Yesu bwe yamala okuzuukira, ne bayingira mu kibuga ekitukuvu, abantu bangi ne ba balaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bava mu ntaana. Era Yesu bwe yamala okuzuukira, ne bayingira mu Kibuga Ekitukuvu, abantu bangi ne babalaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bava mu ntaana bwe yamala okuzuukira, ne bayingira mu kibuga ekitukuvu, bangi ne babalaba.