Matthew 27:55 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abakazi bangi abaali bagoberedde Yezu okuva mu Galilaaya nga bamuweereza baali balengera nga bayima walako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo n’abakazi bangi abaayitanga ne Yesu abaava naye e Ggaliraaya nga bamuweereza, baali beesuddeko akabanga, nga balaba ebigenda mu maaso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waaliwo n'abakazi bangi abaayitanga ne Yesu okuva e Ggaliraaya, era abaamuweerezanga abaayimirira ewalako nga balengera;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo n'abakazi bangi abaayitanga ne Yesu okuva e Galilaaya, nga bamuweereza, abaali ewalako nga balengera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waaliwo n'abakazi bangi abaayimirira ewala nga balengera, abaayitanga ne Yesu okuva e Ggaliraaya, abaamuweerezanga: