Matthew 27:57 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo obudde bwe bwawungeera, ne wajjawo omusajja naggagga ow'e Arimateya, erinnya lye Yozefu; naye yali muyigirizwa wa Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obudde bwe bwawungeera, ne wajja omusajja omugagga ng’ava Alimasaya, erinnya lye Yusufu eyali omu ku bagoberezi ba Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye obudde bwali buwungeera, omusajja omugagga, eyava Alimasaya, erinnya lye Yusufu najja, era naye yali muyigirizwa wa Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obudde bwe bwawungeera, omusajja omugagga ow'e Arimataya, ayitibwa Yosefu, n'ajja. Era naye yali muyigirizwa wa Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye obudde bwali buwungeera, n'ajja omuntu omugagga, eyava Alimasaya, erinnya lye Yusufu, era naye yali muyigirizwa wa Yesu: