Matthew 27:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona abakulu ne batwala ebitundu bya ffeeza, ne bagamba nti: “Tekisaanira kubiteeka mu ggwanika lya Kiggwa, kubanga zino nsimbi za musaayi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona abakulu ne balondalondawo ensimbi eza ffeeza, ne bagamba nti, “Kya muzizo okuzissa mu ggwanika lya yeekaalu kubanga muwendo gwa musaayi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bakabona abakulu ne batwala ebitundu biri ebya ffeeza, ne bagamba nti, “Kya muzizo okubiteeka mu ggwanika lya Katonda, kubanga muwendo gwa musaayi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona abakulu bwe baggyayo ebitundu bya ffeeza ebyo, ne bagamba nti: “Tekikkirizibwa okuteeka ensimbi zino mu kifo omuteekebwa ebirabo, kubanga ziguze omusaayi gw'omuntu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bakabona abakulu ne batwala ebitundu biri ebya ffeeza, ne bagamba nti Kya muzizo okubiteeka mu ggwanika lya Katonda, kubanga muwendo gwa musaayi.