Matthew 27:60 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'aguteeka mu ntaana ye empya gye yali asimye mu lwazi; n'ayiringisiza ejjinja eddene ku mulyango gw'entaana, n'agenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’agugalamiza mu ntaana ye empya gye yatema mu lwazi, n’addira ejjinja eddene n’aliyiringisiza mu mulyango gw’entaana n’aggalawo, ne yeetambulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'aguteeka mu ntaana ye empya, gye yasima mu lwazi; n'ayiringisa ejjinja ddene n'alissa ku mulyango gw'entaana, n'agenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aguteeka mu ntaana eyiye empya ey'empuku, gye yali asimye mu lwazi. N'ayiringisa ejjinja eddene, n'aliggaza omulyango gw'entaana, n'agenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'aguteeka mu ntaana ye empya, gye yasima mu lwazi: n'ayiringisa ejjinja ddene n'alissa ku mulyango gw'entaana, n'agenda.