Matthew 27:62 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwaddako, oluvannyuma lw'Olunaku olw'Okuteekateeka, bakabona abakulu n'Abafarisaayo ne bakuŋŋaanira ewa Pilato,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkeera, ng’olunaku olusooka mu nnaku z’Embaga y’Okuyitako luweddeko, bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne bagenda eri Piraato,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye enkeera, lwe lunaku olwaddirira olw'okuteekateeka, bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne bakuŋŋaanira ewa Piraato,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwaddirira, kwe kugamba oluddirira olw'Okweteekateeka, bakabona abakulu n'Abafarisaayo, ne bakuŋŋaana, Ne bagenda eri Pilaato,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye enkya, lwe lunaku olwaddirira olw'Okuteekateeka, bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne bakuŋŋaanira ewa Piraato,