Matthew 27:64 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kale nno lagira bakuume entaana okutuusa olw'essatu; abayigirizwa sikulwa nga bajja ne bamubbamu, ne bagamba abantu nti: ‘Azuukidde mu bafu.’ Olwo obulimba obw'oluvannyuma bujja kubeera bubi okusinga obw'olubereberye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo tukusaba olagire entaana ye ekuumibwe, okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kumubbamu, ne balyoka bategeeza abantu nti azuukidde! Singa ekyo kiba bwe kityo, ekyo kye kijja okuba ekibi ennyo okusinga n’ekyasooka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno lagira bakuumire ddala entaana okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kujja kumubbamu, bagambe abantu nti, ‘Azuukidde mu bafu,’ era okukyama okw'oluvannyuma kulisinga kuli okwasooka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno lagira bakuumire ddala entaana, okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kugenda kumubbamu, bagambe abantu nti: ‘Azuukidde!’ Olwo obulimba obwo obw'oluvannyuma ne buba bubi okusinga obwo obwasooka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale lagira bakuumire ddala amalaalo okutuusa ku lunaku olw'okusatu, abayigirizwa be batera okujja okumubba, bagambe abantu nti Azuukidde mu bafu: era okukyama okw'oluvannyuma kulisinga kuli okwasooka.