Matthew 27:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omulanzi Yeremiya kye yalanga ne kituukirira nti: “Ne batoola ebitundu bya ffeeza amakumi asatu, omuwendo gw'oyo abaana ba Yisirayeli abamu gwe baali bagereseeko omuwendo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino ne kituukiriza nnabbi Yeremiya bye yayogera nti, “Baddira ebitundu bya ffeeza amakumi asatu, nga gwe muwendo abaana ba Isirayiri gwe baamulamula,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'ekituukirira ekyayogerwa nnabbi Yeremiya ng'agamba nti, “Ne batwala ebitundu ebya ffeeza asatu (30), omuwendo abantu abamu ku baana ba Isiraeri gwe baamulamulamu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo ekyayogerwa omulanzi Yeremiya ne kituukirira nti: “Ne batwala ebitundu bya ffeeza amakumi asatu, omuwendo abamu ku bantu ba Yisirayeli gwe baalamula mu oyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo lwe kyatuukirira ekyayogererwa mu nnabbi Yeremiya, ng'agamba nti Ne batwala ebitundu ebya ffeeza amakumi asatu, omuwendo gw'oyo gwe baalamula omuwendo, abantu ku baana ba Isiraeri gwe baalamula;