Matthew 28:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sabbaato bwe yaggwa, mu matulutulu ku lusooka mu wiiki, Mariya Magudalena ne Mariya omulala ne bajja okulaba entaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lwa Ssabbiiti ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, ng’obudde bukya, Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu oli omulala ne balaga ku ntaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olunaku olwa ssabbiiti bwe lwali lugenda okuggwaako, ng'olunaku olwolubereberye mu nnaku omusanvu lunaatera okukya, Malyamu Magudaleene ne Malyamu omulala ne bagenda okulaba entaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sabbaato bwe yali ng'eggwaako, olunaku olusooka mu wiiki nga lunaatera okukya, Mariya Magudaleena ne Mariya omulala ne bagenda okulaba entaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye olunaku olwa ssabbiiti bwe lwali lugenda okuggwaako, ng'olunaku olw'olubereberye mu nnaku omusanvu lunaatera okukya, Malyamu Magudaleene ne Malyamu ow'okubiri ne bajja okulaba amalaalo.