Matthew 28:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne batwala ensimbi, ne bakola nga bwe baabalagira. Olugambo olwo ne lulaalaasibwa mu Bayudaaya n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo abaserikale ne balya enguzi, ne bakkiriza okwogera nga bwe baabagamba. Ebigambo byabwe ne bibuna nnyo wonna mu Buyudaaya, n’okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakuumi ne batwala ensimbi, ne bakola nga bwe baabagamba; ekigambo kino ne kibuna mu Bayudaaya, n'okutuusa leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakuumi ne batwala ensimbi, ne bakola nga bwe baabagamba. Ekigambo ekyo ne kibuna mu Buyudaaya n'okutuusa kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabo ne batwala effeeza, ne bakola nga bwe baaweererwa: ekigambo kino ne kibuna mu Bayudaaya, okutuusa leero.