Matthew 28:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo abayigirizwa ekkumi n'omu ne bagenda e Galilaaya, ku lusozi Yezu lwe yabalagira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abayigirizwa ekkumi n’omu ne basitula ne bagenda e Ggaliraaya ku lusozi Yesu gye yabagamba okumusanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abayigirizwa ekkumi n'omu (11) ne bagenda e Ggaliraaya ku lusozi Yesu gye yabalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abayigirizwa ekkumi n'omu ne balaga e Galilaaya, ku lusozi Yesu gye yabalagira okugenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abayigirizwa ekkumi n'omu ne bagenda e Ggaliraaya, ku lusozi Yesu gye yabalagira.