Matthew 28:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne wasituka musisi ow'amaanyi, kubanga malayika w'Omukama yakka n'ava mu ggulu n'ajja n'ayiringisaawo ejjinja, n'alituulako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo ne wabaawo okukankana ng’okwa musisi. Malayika wa Mukama yakka okuva mu ggulu n’ayiringisa ejjinja ne liva mu mulyango gw’entaana, n’alituulako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ne wabaawo ekikankano ekinene ku nsi; kubanga malayika wa Mukama yava mu ggulu, n'ajja n'ayiringisa ejjinja n'aliggyawo, era n'alituulako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wabaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, kubanga malayika wa Mukama yava mu ggulu n'ajja, n'ayiringisa ejjinja, n'aliggyawo, era n'alituulako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ne wabaawo ekikankano ekinene ku nsi; kubanga malayika wa Mukama yava mu ggulu, n'ajja n'ayiringisa ejjinja okuliggyawo, n'alituulako.