Matthew 28:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mubayigirize okukwata byonna bye nabalagira. Nange ndi nammwe ennaku zonna okutuusa ku nkomerero y'emirembe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo n’okutuukira ddala ensi lw’eriggwaawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe. Era, laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga mubayigiriza okukwata byonna bye nabalagira mmwe. Nange ndi wamu nammwe okutuusa ensi lw'eriggwaawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe: era, laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.