Matthew 28:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muno taliimu; anti azuukidde, nga bwe yagamba. Mujje mulabe ekifo mwe yabadde agalamidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
wabula taliiwo wano! Azuukidde mu bafu, nga bwe yagamba. Muyingire mulabe we yali agalamiziddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tali wano; kubanga azuukidde, nga bwe yagamba. Mujje, mulabe ekifo we yagalamizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wano taliiwo. Azuukidde nga bwe yagamba. Mujje mulabe ekifo w'abadde agalamidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tali wano; kubanga azuukidde, nga bwe yagamba. Mujje, mulabe ekifo Mukama we yagalamira.