Matthew 28:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mugende mangu mubuulire abayigirizwa be nti azuukidde, abeesooseeyo mu Galilaaya; eyo gye mulimulabira. Kale mbabuulidde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale kaakano, mugende mangu mutegeeze abayigirizwa be nti, Azuukidde mu bafu, era abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya gye mulimusisinkana. Obwo bwe bubaka bwange bwe muba mubatuusaako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mugende mangu, mubuulire abayigirizwa be nti Azuukidde mu bafu; laba, abakulembera okugenda e Ggaliraaya; eyo gye mulimulabira, laba, mbabuulidde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mugende mangu, mubuulire abayigirizwa be nti: ‘Azuukidde, era abakulembeddemu okugenda e Galilaaya. Eyo gye mulimulabira.’ Kaakano mbabuulidde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mugende mangu, mubuulire abayigirizwa be nti Azuukidde mu bafu; laba, abakulembera okugenda e Ggaliraaya; gye mulimulabira: laba, mbabuulidde.