Matthew 3:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na kati embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti. Buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwa gusuulibwe mu muliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala birungi, gutemebwa gusuulibwe mu muliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti; buli muti ogutabala bibala birungi gunaatemebwa, gunaasuulibwa mu muliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mufaanaanyirizibwa n'emiti: kati embazzi eteekeddwa ku kikolo kya buli muti. Ogwo ogutabala bibala birungi gujja kutemebwa, era gusuulibwe mu muliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti: buli muti ogutabala bibala birungi gunaatemebwa, gunaasuulibwa mu muliro.