Matthew 3:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Weewaawo nze mbatiza na mazzi olw'okwenenya, naye oyo ananziririra y'ansinga amaanyi, gwe sisaanira na kukwatira ngatto ze; oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutuukirivu n'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu n’omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze mbabatiza n'amazzi olw'okwenenya; naye oyo ajja emabega wange ye ansinga amaanyi, sisaanira na kukwata ngatto ze; oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze mbabatiza na mazzi okulaga nti mwenenyezza, kyokka oyo anvaako emabega, ye ansinga obuyinza, sisaanira na kukwata ngatto ze. Oyo alibabatiza na Mwoyo Mutuukirivu era na muliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze mbabatiza na mazzi olw'okwenenya: naye oyo ajja ennyuma wange ye ansinga amaanyi, sisaanira na kukwata ngatto ze: oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro.