Matthew 3:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'ayanukula n'amugamba nti: “Mala gakkiriza kati; kubanga tugwanye okutuukiriza buli butuukirivu bwonna.” Awo n'amuleka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amuddamu nti, “Kkiriza ombatize, kubanga kitugwanidde okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Awo Yokaana n’amukkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Kkiriza kaakano; kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Awo Yokaana n'alyoka amukkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amuddamu nti: “Leka kibe bwe kityo kaakano, kubanga mu ngeri eno tujja kutuukiriza ekyo Katonda ky'ayagala.” Awo Yowanne n'akkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu n'addamu n'amugamba nti Kkiriza kaakano: kubanga kitugwanira bwe tutyo okntuukiriza obutuukirivu bwonna. N'alyoka amukkiriza.