Matthew 3:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu olwamala okubatizibwa, amangu ago n'ava mu mazzi. Awo eggulu ne libikkuka, n'alaba Mwoyo wa Katonda ng'akkirira ng'enjiibwa, n'amukkako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo amangwago Yesu nga yakamala okubatizibwa nga yaakava mu mazzi, eggulu ne libikkuka n’alaba Omwoyo wa Katonda ng’amukkako mu kifaananyi ky’ejjiba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu, bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n'ava mu mazzi; laba, eggulu ne libikkuka, n'alaba Omwoyo gwa Katonda nga gukka ng'ejjiba, nga gujja ku ye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yamala okubatizibwa, amangwago n'ava mu mazzi, awo eggulu ne libikkuka, n'alaba Mwoyo wa Katonda ng'akka ng'ejjiba, ng'ajja ku ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu, bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n'ava mu mazzi: laba, eggulu ne limubikkukira, n'alaba Omwoyo gwa Katonda ng'akka ng'ejjiba, ng'ajja ku ye;