Matthew 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno Yowanna yalina ekyambalo eky'ebyoya by'eŋŋamiya n'omusipi ogw'olukoba mu kiwato kye; emmere ye yabanga nzige n'omubisi gw'enjuki ogw'oku ttale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyambalo bya Yokaana byakolebwa mu bwoya bwa ŋŋamira, era nga yeesibya lukoba lwa ddiba. N’emmere ye yali nzige na mubisi gwa njuki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yokaana oyo yayambalanga engoye ez'ebyoya by'eŋŋamira, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato; n'emmere ye yalyanga nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu nsiko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowanne ono yayambalanga ekyambalo ekyakolebwa mu byoya by'eŋŋamiya, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato. Yalyanga nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu ttale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yokaana oyo yayambalanga engoye ez'ebyoya by'eŋŋamira, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato; n'emmere ye yali nzige na mubisi gw'enjuki ez'omu nsiko.